2 Samwiri 12:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama, n’okukola n’okola ekibi bwe kityo mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala, n’otwala mukyala we n’omufuula owuwo.’
Read full chapter
Zabbuli 119:126
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
kubanga amateeka go gamenyeddwa.
Engero 13:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana,
naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.
Ebyabaleevi 5:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebikolwa Ebyetaagisa Ebiweebwayo olw’Ekibi
5 (A)“ ‘Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.
Read full chapter
Ezeekyeri 18:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.